Genesis 43:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atera n'abaviira, kubanga omutima gwali gumwefuukudde olwa muganda we, n'anoonya aw'okukaabira; n'agenda mu kisenge, n'akaabira eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu n’ayanguwa okuva mu maaso gaabwe, kubanga omutima gwe gwalumwa olwa muganda we, n’anoonya ekifo w’anaakabira. N’alinnya mu kisenge kye n’akaabira eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'avaawo mangu, kubanga emmeeme yamutenguka olwa muganda we; n'anoonya w'anaakaabira amaziga. N'ayingira mu kisenge kye, n'akaabira omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'avaawo mangu, kubanga emmeeme yamutenguka olwa muganda we. N'anoonya w'anaakaabira amaziga. N'ayingira mu kisenge kye, n'akaabira omwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'ayanguwa; kubanga emmeeme ye yalumirwa muganda we: n'anoonya w'anaakaabira amaziga; n'ayingira mu kisenge kye, n'akaabira omwo.