Genesis 43:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali babatuuzizza mu maaso ge nga bwe bagenda baddiriŋŋanwako, nga basooka n'omuggulanda mu bukulu bwe okutuuka ku muto asembayo obuto. Baali mu kuwuniikirira nga buli omu atunula butunuzi ku munne.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo baganda ba Yusufu ne batuula mu maaso ge nga baddiriŋŋana okuva ku mukulu mu buzaale bwabwe okutuuka ku muto; ne batunulaganako nga beewuunya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'oluganda ne batuuzibwa nga batunuulidde Yusufu, nga bwe baddiŋŋanako mu kuzaalibwa, okuva ku asinga obukulu, okutuuka ku asembayo obuto. Ne batunuliganako nga beewuunya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda ne batuuzibwa nga batunuulidde Yosefu, nga bwe baddiŋŋanako mu kuzaalibwa, okuva ku asinga obukulu, okutuuka ku asembayo obuto. Ne batunulaganako, ne beewuunya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batuula mu maaso ge, omubereberye ng'obukulu bwe bwe bwali, n'omuto ng'obuto bwe bwe bwali: abasajja ne beewuunya bokka na bokka.