Genesis 43:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'abaddizaayo ebibego okuva ku mmeeza ye, naye ekibego kya Benyamiini nga kisinga ekya buli omu ku bali emirundi etaano. Ne balya ne banywa, ne basanyuka wamu naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’abakoleza ebitole okuva ku mmeeza ye, naye ekitole kya Benyamini ne kisinga ekya baganda be emirundi etaano. Bwe batyo ne balya ne basanyukira wamu ne Yusufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'ababegera ebitole ku mmere ye; naye ekitole kya Benyamini kye kyasinga ebya banne byonna emirundi etaano. Ne banywa, ne basanyukira wamu ne Yusufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'ababegera ku mmere eyali mu maaso ge. Ekitole kya Benyamiini ne kisinga obunene emirundi etaano ku buli kimu ku by'abalala bonna. Ne banywa, ne basanyukira wamu ne Yosefu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ababegerako ebitole (ku mmere) eyali mu maaso ge: naye ekitole kya Benyamini kyasinga ebyabwe byonna emirundi etaano. Ne banywa, ne basanyukira wamu naye.