Genesis 43:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye bw'otokkiriza, tetujja kugenda, kubanga omusajja yatukomereza ng'agamba nti: ‘Okuggyako nga muganda wammwe ali nammwe, temugenda kuntunula mu maaso.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’otomukkirize kugenda naffe, tetujja kuserengeta, kubanga omusajja yatugamba nti, ‘Temugenda kulaba maaso gange nga muganda wammwe tali nammwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bw'otomukkirize tetujja kugenda; kubanga omusajja yatugamba nti, ‘Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali nammwe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bw'otoomukkirize, tetujja kugenda kubanga omusajja yatugamba nti: ‘Temujjanga mu maaso gange, wabula nga muganda wammwe ali awamu nammwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bw'otoomusindike, tetugenda kuserengeta: kubanga omusajja yatugamba nti Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali nammwe.