Genesis 43:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne baanukula nti: “Omusajja yatubuuza ebitufaako n'ebifa ku b'ennyumba yaffe: ‘Kitammwe akyaliwo? Mulinayo muganda wammwe omulala?’ Naffe twamwanukula ebibuuzo bye nga bwe yabibuuzanga. Twandimanye tutya nti ajja kutugamba nti: ‘Muserengese wano muganda wammwe’?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagamba nti, “Omusajja yatubuuza nnyo ebitufaako awamu n’ebifa ku lulyo lwaffe, ng’abuuza nti, ‘Kitammwe gyali mulamu? Mulina muganda wammwe omulala?’ Kye twamutegeeza nga kiddamu buzzi ebibuuzo bye yatubuuzanga. Tetwamanya ng’anaatugamba okuserengesa muganda waffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baddamu nti, “Omusajja yatubuuza nnyo ebitufaako, ne ku baganda baffe, ng'agamba nti, ‘Kitammwe akyali mulamu? Mulinayo muganda wammwe omulala?’ Twamuddamu ebyo bye yatubuuza. Twanditegedde tutya nti anaatugamba nti, ‘Muleete muganda wammwe?’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baddamu nti: “Omusajja yatubuuza nnyo ku bitufaako, ne ku baganda baffe, ng'agamba nti: ‘Kitammwe akyali mulamu? Mulinayo muganda wammwe omulala?’ Twamuddamu ebyo bye yatubuuza. Twanditegedde tutya nti anaatugamba nti: ‘Muleete muganda wammwe?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera nti Omusajja yatubuuzabubuuza bwe twali ne baganda baffe bwe baali, ng'ayogera nti Kitammwe akyali mulamu? mulina ow'oluganda omulala? ne tumubuulira ng'ebigambo ebyo bwe biri: twandiyinzizza n'akatono okutegeera ng'anaagamba nti Muserengese muganda wammwe?