Genesis 43:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda n'ayongera n'agamba kitaabwe Yisirayeli nti: “Omwana musindike ng'omunkwasizza nze, tugende tusobole okuwonya obulamu bwaffe, obubwo n'obw'abaana baffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Yuda n’agamba Isirayiri kitaawe nti, “Mpa omulenzi tulyoke tugende tube balamu, tuleme okufa enjala, ffe naawe n’abaana baffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda n'agamba Isiraeri kitaawe nti, “Omulenzi mukwase nze, naffe tunaasituka ne tugenda; tulyoke tube abalamu ffe, naawe, era n'abaana baffe abato, enjala ereme okututta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yuda n'agamba Yisirayeli nti: “Omulenzi mukwase nze, tusituke tugende, tulyoke tube balamu; ffe naawe, n'abaana baffe abato, enjala ereme kututta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda n'agamba Isiraeri kitaawe nti Sindika omulenzi awamu nange, naffe tunaagolokoka ne tugenda; tube abalamu, tuleme okufa, ffe; naawe, era n'abaana baffe abato.