Genesis 44:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'alagira omuwanika w'ennyumba ye nti: “Ensawo zaabwe zijjuze eŋŋano yonna eyinza okugyamu, ne ssente za buli omu ozisse ku mugo gw'ensawo ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu n’alagira omuweereza mu nnyumba ye nti, “Jjuza ensawo z’abasajja emmere nga bwe basobola okugyetikka, era oteeke ensimbi za buli omu mu nsawo ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'alagira omuwanika w'ennyumba ye nti, “Jjuza ensawo ez'abasajja emmere, nga bwe bayinza okwetikka, era teeka effeeza eya buli muntu mu kamwa k'ensawo ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yosefu n'alagira omuwanika we nti: “Teeka mu nsawo z'abasajja emmere yonna gye bayinza okwetikka, era teeka ensimbi za buli omu ku mumwa gw'ensawo ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alagira omuwanika w'ennyumba ye, ng'ayogera nti jjuza ensawo ez'abasajja emmere, nga bwe bayinza okwetikka, era teeka effeeza eya buli muntu mu kamwa k'ensawo ye.