Genesis 44:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Kale kibeere nga bwe mugambye: Yenna anaasangibwa nakyo, anaafuuka muddu wange; mmwe abalala munaaba mwejjeeredde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaddamu nti, “Kale kibeere nga bwe mwogedde, oyo anaasangibwa nakyo abeere muddu wange, naye abalala mu mmwe tewaabe abaako ky’avunaanwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Kale nno kaakano kibe nga bwe mugambye. Anaasangibwa ng'ali nakyo ye anaaba omuddu wange; nammwe abalala temubeeko musango.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Kale kibe nga bwe mugambye. Wabula oyo anaasangibwa nakyo, ye anaaba omuddu wange. Mwe abalala temuubeeko musango.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Kale nno kaakano kibe ng'ebigambo byammwe bwe biri: anaalabika ng'ali nakyo ye anaaba omuddu wange; nammwe temuubeeko musango.