Genesis 44:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago buli omu n'assa wansi ku ttaka ensawo ye, n'agisumulula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago buli omu nassa ensawo ye wansi n’agisumulula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne banguwa, ne beetikkula buli muntu ensawo ye, ne bazissa wansi, buli omu n'asumulula ensawo ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne batikkula mangu ensawo zaabwe, ne bazissa wansi, buli omu n'asumulula ensawo ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne banguwa, ne beetikkula buli muntu ensawo ye, ne bazissa wansi, buli omu n'asumulula ensawo ye.