Genesis 44:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'azifuuza ng'asookera ku mukulu okutuuka ku asembayo, ekikopo n'akisanga mu nsawo ya Benyamiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka abaaza ng’asookera ku asinga obukulu okutuuka ku asembayo obuto; ekikopo ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuwanika wa Yusufu, n'ayaza, ng'asookera ku mubereberye n'amalira ku muto; ekikompe ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwanika wa Yosefu n'ayaza, ng'asookera ku asinga obukulu, n'amalira ku asinga obuto. Ekikopo ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'anoonya, ng'asookera ku mubereberye n'amalira ku muto: ekikompe ne kirabikira mu nsawo ya Benyamini.
Recommended Reading