Genesis 44:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bayuza ebyambalo byabwe; buli omu n'atikka buto endogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bayuza engoye zaabwe, buli omu n’atikka endogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne balyoka bayuza engoye zaabwe, buli muntu n'ateeka ebintu ku ndogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda ne balyoka bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, buli omu n'atikka ebintu ku ndogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balyoka bayuza engoye zaabwe, ne bateeka ebintu buli muntu ku ndogoyi ye ne baddayo mu kibuga.