Genesis 44:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda ne baganda be ne baddayo ewa Yozefu, yali tannava mu nnyumba; bonna wamu ne bagwa wansi ku maaso gaabwe ku ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu yali akyali mu nju, Yuda ne baganda be bwe baatuuka gy’ali, ne bagwa mu maaso ge ne bamuvuunamira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda ne baganda be ne batuuka mu nnyumba ya Yusufu, ne bamusanga ng'akyaliyo; ne bavuunama mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yuda ne baganda be bwe baatuuka mu nnyumba ya Yosefu, ne basanga ng'akyaliyo, ne bavuunama mu maaso ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda ne baganda be ne batuuka mu nnyumba ya Yusufu; ne bamusanga ng'akyaliyo: ne bavuunama mu maaso ge.