Genesis 44:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abagamba nti: “Kiki kino kye mwakoze? Mubadde temumanyi nti omuntu nga nze nzuula ebintu nga ndagula?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’abagamba nti, “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali nga nze asobola okuvumbula kye mukoze?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'abagamba nti, “Kikolwa ki kino kye mukoze? Temumanyi nti omusajja eyenkana nange obukulu ayinza okulagulira ddala?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'abagamba nti: “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali mu kifo ng'ekyange, ddala ayinza okulagula?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'abagamba nti Kikolwa ki kino kye mukoze? temumanyi nti omusajja eyenkana nange obukulu ayinza okulagulira ddala?