Genesis 44:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda n'amugamba nti: “Mukama wange, tunaakugamba ki? Tunaayogera ki? Tuneewozaako tutya? Katonda awemuukirizza abaweereza bo. Ffenna tuutuno tuli baddu ba mukama waffe, ffe n'oyo gwe bakutte n'ekikopo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda n’addamu nti, “Tunaddamu ki mukama wange? Tunaayogera ki? Oba tuneggyako tutya omusango? Katonda avumbudde obwonoonyi bw’abaddu bo, laba tuli baddu ba mukama wange, ffenna, ffe n’oyo asangiddwa n’ekikopo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda n'ayogera nti, “Tunaagamba tutya mukama wange? Tunaayogera tutya? Oba tunaawoza tutya? Katonda alabye obutali butuukirivu bw'abaddu bo; Kati tuli baddu ffe awamu n'oyo asangiddwa n'ekikompe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yuda n'agamba nti: “Tunaakugamba ki mukama wange? Tunaayogera ki? Oba tunaawoza tutya? Katonda azudde omusango gwaffe. Tuutuno. Kaakano tuli baddu bo, mukama wange, ffe era n'oyo asangiddwa n'ekikopo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda n'ayogera nti Tunaagamba tutya mukama wange? tunaayogera tutya? oba tunaawoza tutya? Katonda akebedde obutali butuukirivu bw'abaddu bo: laba, tuli baddu ba mukama wange, ffe era n'oyo alabise ng'alina ekikompe mu mukono gwe.