Genesis 44:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'ayanukula nti: “Kikafuuwe nze okukola bwe ntyo. Oyo yekka eyabbye ekikopo, ye w'okufuuka omuddu wange. Abalala mweddireyo eri kitammwe mu ddembe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’addamu nti, “Ekyo sijja kukikola, wabula oyo asangiddwa n’ekikopo, y’anaaba omuddu wange, naye mmwe mwambuke mirembe, mutuuke eri kitammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'agamba nti, “Nedda, siyinza kukola bwe ntyo. Oyo yekka asangiddwa n'ekikompe ye anaaba omuddu wange. Naye mmwe abalala muddeyo mirembe eri kitammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'agamba nti: “Nedda, siyinza kukola bwe ntyo. Oyo yekka asangiddwa n'ekikopo, ye anaaba omuddu wange. Naye mmwe abalala mwambuke muddeyo mirembe eri kitammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Kitalo nze okukola bwe ntyo: omusajja alabise ng'alina ekikompe mu mukono gwe ye anaaba omuddu wange; naye mmwe, mwambuke mugende eri kitammwe n'emirembe.