Genesis 44:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda n'asembera we yali, n'agamba nti: “Ssebo, nkwegayiridde omuweereza wo leka ayogereko gy'oli; obusungu bwo buleme kweserera ku muweereza wo, newandibadde nga kumpi wenkana Faraawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yuda n’alaga eri Yusufu n’agamba nti, “Ayi mukama wange nkusaba omuddu wo abeeko kyayogera gy’oli, n’obusungu bwo buleme kubuubuuka eri omuddu wo; kubanga oli nga Falaawo yennyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yuda n'alyoka asemberera Yusufu n'ayogera nti, “Ayi mukama wange nkwegayiridde, nzikiriza nze omuddu wo njogereko naawe, tonsunguwalira, kubanga olinga Falaawo ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yuda n'ajja awali Yosefu, n'agamba nti: “Mukama wange, nkwegayiridde, nzikiriza, nze omuddu wo, njogereko naawe. Tonsunguwalira, kubanga oli nga kabaka yennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda n'alyoka amusemberera n'ayogera nti Ai mukama wange, nkwegayiridde, omuddu wo ayogere ekigambo mu matu ga mukama wange, so obusungu bwo buleme okubuubuukira omuddu wo: kubanga oliŋŋanga, Falaawo ddala.