Genesis 44:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ekikopo kyange ekya ffeeza kisse mu nsawo y'oyo asembayo obuto wamu ne ssente ze ez'okugula eŋŋano.” Naye n'akola nga Yozefu bwe yali amulagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era oteeke ekikopo kyange, ekya ffeeza, mu kamwa k’ensawo ya muto waabwe, wamu n’ensimbi ze ez’okugula emmere.” N’akola nga Yusufu bwe yamugamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era teeka ekikompe kyange, ekya ffeeza, mu kamwa k'ensawo ey'omuto, wamu n'effeeza ye.” Omuwanika n'akola nga Yusufu bw'amugambye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teeka n'ekikopo kyange, ekya ffeeza, ku mumwa gw'ensawo ey'oyo asinga obuto, era oteekemu n'ensimbi ze z'aguzizza eŋŋaano.” Omuwanika n'akola nga Yosefu bw'amugambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era teeka ekikompe kyange, ekikompe ekya ffeeza, mu kamwa k'ensawo ey'omuto, n'effeeza ye ey'eŋŋaano. N'akola ng'ekigambo bwe kibadde Yusufu ky'ayogedde.