Genesis 44:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffe twayanukula mukama wange nti: ‘Tulina kitaffe, mukadde, alina ne mutabani we omuto eyamuzaalirwa mu bukadde; muganda we bwe bazaalibwa nnyabwe yafa; y'asigadde yekka, ate kitaawe amwagala.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne tuddamu mukama wange nti, ‘Tulina kitaffe, musajja mukulu, ne muganda waffe atusinga obuto, omwana gwe yazaala mu bukadde bwe, ne muganda wa muto waffe, yafa; muto waffe yekka y’aliwo, eyasigalawo yekka ku baana ba nnyina; era kitaawe amwagala nnyo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naffe ne tugamba mukama wange nti, ‘Tulina kitaffe, mukadde, n'omwana gwe yazaala ng'akaddiye, omwana omuto; ne muganda we yafa, naye asigaddewo yekka ku baana bannyina, era kitaawe amwagala.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffe ne tukuddamu nti: ‘Tulina kitaffe mukadde, ne muganda waffe omuto, eyazaalibwa nga kitaffe akaddiye. Muganda w'omwana oyo yafa, era ye, ye yekka asigaddewo ku baana ba nnyina, era kitaawe amwagala nnyo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naffe ne tugamba mukama wange nti Tulina kitaffe, mukadde, n'omwana gwe yazaala ng'akaddiye, omwana omuto; ne muganda we yafa, naye asigaddewo yekka ku baana ba nnyina, era kitaawe amwagala.