Genesis 44:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twategeeza mukama wange nti: ‘Omwana tasobola kuva ku kitaawe; bw'amuleka ajja kufa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twategeeza mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga bw’amuvaako, kitaawe alifa bufi!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne tugamba mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuleka kitaawe; kubanga bw'alimuleka, kitaawe alifa.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne tukugamba, mukama wange, nti: ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga singa amuvaako, kitaawe ajja kufa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne tugamba mukama wange nti Omulenzi tayinza kuleka kitaawe: kuba bw'alireka kitaawe, kitaawe alifa.