Genesis 44:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ogamba abaweereza bo nti: ‘Muganda wammwe omuto okuggyako ng'aserengese eno nammwe, temugenda kuntunula mu maaso.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oddamu abaddu bo nti, ‘Muto wammwe bw’ataliserengeta nammwe, temugenda kulaba maaso gange.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaddu bo n'obagamba nti, ‘Muto wammwe bw'atalijja nammwe, temuliddayo kulaba ku maaso gange nate.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'otugamba ffe abaddu bo nti: ‘Muganda wammwe asinga obuto bw'atalijja wamu nammwe, temulikkirizibwa mu maaso gange nate.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ogamba abaddu bo nti Mwana wa bommwe bw'ataliserengeta nammwe, temuliraba nate maaso gange.