Genesis 44:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
twamuddamu nti: ‘Tetuyinza kugenda. Muganda waffe omuto bw'anaaserengeta naffe, tujja kugenda. Tetugenda kutunula mu maaso ga musajja okuggyako nga muganda waffe tuli naye.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne tumuddamu nti, ‘Tetusobola kuserengeta. Muto waffe bw’atagenda naffe tetujja kugenda kubanga tetusobola kulaba maaso ga musajja oli nga muto waffe tali naffe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naffe ne twogera nti, ‘Tetuyinza kuddayo, muto waffe bw'atagende naffe, kubanga tetugenda kuddayo kulaba ku maaso ga musajja, wabula nga muto waffe ali wamu naffe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffe ne tugamba nti: ‘Tetuyinza kugenda, kubanga tetujja kukkirizibwa mu maaso ga musajja oli, okuggyako nga muganda waffe asinga obuto ali wamu naffe. Muganda waffe asinga obuto bw'anaagenda awamu naffe, olwo lwe tunaagenda.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naffe ne twogera nti Tetuyinza kuserengeta: omwana wa boffe bw'anaabeera awamu naffe, tuliserengeta: kubanga tetuyinza kulaba maaso ga musajja, omwana wa boffe wabula ng'ali wamu naffe.