Genesis 44:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu yaŋŋendako, ne ŋŋamba nti: “Ekisolo kyamutaagulataagula.” N'okutuusa kati simulabanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omu yambulako, ne njogera nti mazima yataagulwataagulwa; era siddangayo kumulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omu n'anvaako, kye nnava njogera nti Mazima yataagulwataagulwa ensolo enkambwe, era siddangayo ku mulabako,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu yanvaako, ne ŋŋamba nti ddala yataagulwataagulwa ensolo enkambwe! Era siddangayo kumulabako kasookedde anvaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omu n'ava gye ndi, ne njogera nti Mazima yataagulwataagulwa; nange sikyamulabako: