Genesis 44:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno bwe nnadda eri omuweereza wo kitange, ng'omwana tali naffe, ate nga w'atali ne kitaffe tasobola kubeerawo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale kaakano, bwe nzirayo eri omuddu wo kitange ng’omulenzi tali naffe, obulamu bwe nga bwe bunyweredde ku bw’omulenzi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano bwe ndiddayo eri omuddu wo kitaffe ng'omulenzi oyo omuganzi tali wamu naffe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kaakano bwe ndiddayo eri kitange omuweereza wo, ng'omulenzi tali wamu nange, obulamu bwa kitaffe nga bwe buli awamu n'obw'omulenzi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano bwe ndijja eri omuddu wo kitange, n'omulenzi nga tali wamu naffe; kubanga obulamu bwe busibiddwa n'obulamu bw'omulenzi;