Genesis 44:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza wo nze neeyimirira omwana eri kitaawe ne mmugamba nti: ‘Bwe sirimuzza gy'oli, olinvunaana omusango ogwo obulamu bwange bwonna.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omuweereza wo yeeyimirira omulenzi eri kitange; nga ŋŋamba nti, ‘Bwe sirimuzza gy’oli ndiba n’obuvunaanyizibwa n’okunenyezebwa ennaku zonna ez’obulamu bwange.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuddu wo ye yeeyimirira omulenzi eri kitaffe nga njogera nti, ‘Bwe sirimukomyawo gy'oli, nze ndiba n'omusango eri kitaffe ennaku zonna.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze omuddu wo, nze neeyama eri kitange, okukuuma omulenzi nga ŋŋamba nti: ‘Bwe sirimukomyawo gy'oli, nze ndiba n'omusango gy'oli ennaku zonna ez'obulamu bwange.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omuddu wo ye yeeyimirira omulenzi eri kitange nga njogera nti Bwe sirimuleeta gy'oli, nze ndiba n'omusango eri kitange ennaku zonna.