Genesis 44:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkwegayiridde leka nze nsigale wano ng'omuweereza wa mukama wange mu kifo ky'omwana, ye omwana addeyo ne baganda be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale kaakano nkwegayirira, omuddu wo nsigale ng’omuddu wa mukama wange, mu kifo ky’omulenzi; omulenzi omuleke addeyo ne baganda be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno, nkwegayiridde, omuddu wo abeere wano mu kifo ky'omulenzi okuba omuddu wa mukama wange; n'omulenzi ayambukire wamu ne baganda be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno, mukama wange, nkwegayiridde, nzikiriza nze nsigale wano okuba omuddu wo, mu kifo ky'omulenzi, ye omulenzi addeyo wamu ne baganda be,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno, nkwegayiridde, omuddu wo abeere wano mu kifo ky'omulenzi okuba omuddu wa mukama wange; n'omulenzi ayambukire wamu ne baganda be.