Genesis 44:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsobola ntya okudda ewa kitange ng'omwana tali nange ndabe ennaku ezinajjira kitange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale n’addayo ntya eri kitange ng’omulenzi tali nange? Ntya okulaba akabi akayinza okutuuka ku kitange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ndituuka ntya eri kitange, ng'omulenzi tali wamu nange? Siyinza kugumira kabi akalituuka ku kitange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ndituuka ntya eri kitange, ng'omulenzi tali wamu nange? Siyinza kugumira kulaba kabi kalituuka ku kitange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ndyambuka ntya eri kitange, n'omulenzi nga tali wamu nange? nneme okulaba akabi akalituuka ku kitange.