Genesis 44:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali baakafuluma ekibuga nga tebannagenda wala, Yozefu n'ayita omuwanika w'ennyumba, n'amugamba nti: “Situka, wondera abasajja, bw'obasanga bagambe nti: ‘Lwaki ekirungi mukisasudde na kibi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali baakava mu kibuga Yusufu n’agamba omuweereza we nti, “Golokoka obagoberere bw’obatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki musasudde ekibi olw’ebirungi? Lwaki mubbye ekikopo kyange ekya ffeeza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baali bakava mu kibuga naye nga bakyali kumpimpi, Yusufu n'agamba omuwanika we nti, “Situka ogoberere abasajja abo; bw'onoobatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki obulungi mu busasuddemu obubi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali baakatambulako katono okuva mu kibuga, Yosefu n'agamba omuwanika we nti: “Situka ogoberere abasajja abo. Bw'onoobatuukako, ogambe nti: ‘Lwaki ebirungi mubisasuddemu ebibi? Lwaki mubbye ekikopo kya mukama wange ekya ffeeza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baamala okuva mu kibuga, nga bakyali kumpimpi, Yusufu n'agamba omuwanika we nti Golokoka, ogoberere abasajja; bw'onoobatuukako, bagambe nti Kiki ekibawalanyizza ebibi olw'obulungi?