Genesis 44:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino si kye kikopo mukama wange mw'anywera, era kye yeeyamba okulagula? Mubadde basobya mu kye mukoze.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kino mukama wange si mwanywera, era si kyalaguza? Mu ekyo mukoze bubi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino si kye kiikyo mukama wange ky'anyweramu, era ky'alaguza? Mukoze bubi nnyo.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino si kye kiikyo mukama wange ky'anyweramu era ky'akozesa ng'alagula? Kye mukoze kibi nnyo!’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kino si kye kiikyo mukama wange ky'anywesa, era n'okulagula ky'alaguza? mwakoze bubi bwe mwakoze bwe mutyo.