Genesis 44:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, ssente ze twasanga waggulu mu nsawo zaffe, twaziggye mu nsi y'e Kanaani ne tuzikuddiza; lwaki twandibbye mu nnyumba ya mukama wo ffeeza oba zaabu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, ensimbi ze twasanga ku mimwa gy’ensawo zaffe twazikuddiza okuva mu nsi ya Kanani, kale twandisobodde tutya okubba ffeeza oba zaabu okuva mu nnyumba ya mukama wo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, effeeza gye twasanga mu bumwa bw'ensawo zaffe, twagizza gy'oli, okuva mu nsi ya Kanani; kale twandibbye tutya effeeza oba zaabu mu nnyumba ya mukama wo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olaba ensimbi ze twasanga ku mimwa gy'ensawo zaffe twazikuddiza okuva mu nsi ya Kanaani, kale twandibbye tutya ffeeza oba zaabu mu nnyumba ya mukama wo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, effeeza gye twalaba mu bumwa bw'ensawo zaffe, twagizza gy'oli okuva mu nsi ya Kanani: kale twandibbye tutya effeeza oba zaabu mu nnyumba ya mukama wo?