Genesis 44:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku baweereza bo gw'onookwata ne ky'onoonya, afe; naffe abalala tunaafuuka baddu ba mukama wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo gw’onookisanga nakyo mu ffe abaddu bo, afe, era naffe tuliba baddu ba mukama wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli anaasangibwa ku baddu bo ng'ali nakyo, attibwe era naffe abasigaddewo tunaaba baddu bo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ssebo, buli yenna ku ffe abaweereza bo, anaasangibwa nga ye ali nakyo, anattibwa, era naffe abasigaddewo tunaaba baddu bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli anaalabika ku baddu bo ng'ali nakyo, afe, era naffe; tunaaba abaddu ba mukama wange.