Genesis 45:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu yali takyasobola kwefuga mu maaso g'abaweereza be bonna, n'akangula eddoboozi nti: “Buli omu afulume.” Bwe yeeyanjulira baganda be, tewaaliwo mulala yenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu n’atasobola kwefuga n’alemererwa okwongera okwekuuma mu maaso gaabo bonna abaaliwo; kwe kulagira nti, “Muggyeewo abantu bonna mu maaso gange.” Bwe kityo ne wataba muntu mulala yenna Yusufu bwe yali yeeraga eri baganda be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yusufu n'alemwa okuzibiikiririza mu maaso g'abo bonna abayimiridde okumpi naye; n'ayogerera waggulu nti, “Mufulumye abantu bonna bave we ndi.” Ne watasigala muntu n'omu bwe yali nga yeeyoleka eri baganda be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'alemwa okwefugira mu maaso g'abaweereza be, n'alagira bonna bafulume bave w'ali. Ne watasigalawo n'omu nga Yosefu yeeyoleka eri baganda be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yusufu n'alemwa okuzibiikiririza mu maaso g'abo bonna abayimiridde okumpi naye; n'ayogerera waggulu nti Mufulumye buli muntu bave gye ndi. Ne wataba muntu ayimiridde naye, Yusufu bwe yali yeeyoleka eri baganda be.