Genesis 45:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ojja kusenga mu nsi Goseni, okumpi nange, ggwe n'abaana bo ne bazzukulu bo, endiga zo n'ente zo, n'eby'obugagga bwo byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ojja kubeera mu Goseni, olibeera kumpi nange. Ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebisibo byammwe, amagana gammwe ne byonna bye mulina;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onootuulanga mu nsi ey'e Goseni, naawe onoobeeranga kumpi nange, ggwe n'abaana bo, n'abazzukulu bo, n'endiga zo n'ente zo, ne byonna by'olina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onoobeeranga mu nsi y'e Goseni, obeerenga kumpi nange, ggwe n'abaana bo, ne bazzukulu bo, n'endiga zo n'embuzi zo, ne byonna by'olina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era onootuulanga mu nsi ey'e Goseni, naawe onoobeeranga kumpi nange, ggwe n'abaana bo, n'abaana b'abaana bo, n'endiga zo n'ente zo, ne byonna by'olina: