Genesis 45:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukulabirira, anti wakyasigaddeyo emyaka etaano egy'enjala, sikulwa nga ggwe, ennyumba yo n'ababo mwenna mujeera.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
eyo gye nnaabagabiririranga; si kulwa nga mmwe n’ennyumba zammwe ne byonna bye mulina biggwaawo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaakulabiriranga ng'oli eyo; ggwe n'ab'omu maka go, ne byonna by'olina, oleme kwavuwala, kubanga wakyasigaddeyo emyaka emirala etaano (5) egy'enjala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaakulabiriranga ng'oli eyo, ggwe n'ab'omu maka go, ne byonna by'olina, oleme kwavuwala, kubanga wakyasigaddeyo emyaka emirala etaano egy'enjala.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era naakuliisizanga eyo; kubanga ekyasigaddeyo emyaka etaano egy'enjala; oleme okwavuwala, ggwe n'ennyumba yo ne byonna by'olina.