Genesis 45:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabye n'amaaso gammwe, ne muganda wange Benyamiini naye andabye, nti nzennyini, nze njogera gye muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era kaakano mwerabiddeko n’amaaso gammwe era ne muganda wange Benyamini akyerabiddeko nti nze njogera nammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano mmwe mwennyini mulaba, era ne muganda wange Benyamini alaba, nga nze Yusufu yennyini ayogera nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano mmwe mwennyini mulaba, era ne muganda wange Benyamiini alaba, nga nze Yosefu yennyini ayogera nammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, amaaso gammwe galaba, era n'amaaso ga muganda wange Benyamini, ng'akamwa kange ke koogera nammwe.