Genesis 45:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubuulire kitange ekitiibwa kye nnina mu Misiri na byonna bye mulabye. Mwanguweeko, kitange mumuserengese mangu wano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muteekwa okutegeeza kitange ekitiibwa kye nnina mu Misiri, ne byonna bye mulabye. Temulwa, muserengese kitange wano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mubuulire kitange ekitiibwa kyange kyonna kye nnina mu Misiri, era mumutegeeze ne byonna bye mulabye; mwanguwe mumuleete wano.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mubuulire kitange ekitiibwa kyange kyonna kye nnina mu Misiri, era mumutegeeze ne byonna bye mulabye. Mwanguwe muleete kitange wano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulibuulira kitange ekitiibwa kyange kyonna mu Misiri bwe kiri, ne byonna bye mulabye; era mwanguwe muserengese kitange mumuleete wano.