Genesis 45:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawulire ne gatuuka mu lubiri lwa Faraawo nti: “Baganda ba Yozefu bazze.” Faraawo n'asanyuka n'abakungu be bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo eby’okujja kwa baganda ba Yusufu bwe byawulirwa mu nnyumba ya Falaawo ne bisanyusa nnyo Falaawo n’abaweereza be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo bwe byatuuka mu lubiri lwa Falaawo nti, “baganda ba Yusufu bazze,” Falaawo n'abakungu be ne basanyuka nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigambo bwe byatuuka mu lubiri lwa kabaka nti baganda ba Yosefu bazze, kabaka n'abakungu be ne basanyuka nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebigambo ebyo ne biwulirwa mu nnyumba ya Falaawo, nti Baganda ba Yusufu bazze: ne bisanyusa nnyo Falaawo n’abaddu be.