Genesis 45:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'agamba Yozefu nti: “Gamba baganda bo nti: ‘Mukole kino: mutikke ensolo zammwe, muddeeyo mu nsi Kanaani,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Gamba baganda bo nti, ‘Mukole bwe muti: mutikke ensolo zammwe muddeyo mu nsi ya Kanani,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Gamba baganda bo nti, ‘Mutikke ebintu ku nsolo zammwe, muddeyo mu nsi ya Kanani;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Gamba baganda bo nti: ‘Mutikke ebintu ku nsolo zammwe, muddeyo mu nsi ya Kanaani,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'agamba Yusufu nti Gamba baganda bo nti Mukole bwe muti; muteeke ebintu ku nsolo zammwe, mugende muserengete mu nsi ya Kanani;