Genesis 45:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
muggyeyo kitammwe n'amaka gammwe, mukomeewo gye ndi. Nzija kubawa ekitundu ky'e Misiri ekisinga obulungi, mulyenga ku bugimu bw'ensi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
munone kitammwe n’abantu bammwe n’ebyammwe mujje gye ndi, ndibawa ekifo ekisinga obulungi mu nsi y’e Misiri, nammwe mulirya obulungi obw’ensi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
muleete kitammwe n'ab'omu nnyumba zammwe, mujje ewange, nange ndibawa ettaka erisinga obugimu mu Misiri, era munaalyanga ebirungi eby'omu nsi eno.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
muggyeyo kitammwe n'ab'omu maka gammwe, mujje gye ndi. Ndibawa ettaka erisinga obugimu mu Misiri, era munaalyanga ku birungi eby'omu nsi eno.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mutwale kitammwe n'ennyumba zammwe, mujje ewange: nange ndibawa ebirungi eby'omu nsi y'e Misiri, era munaalyanga obugimu obw'ensi.