Genesis 45:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era balagire nti: ‘Mukole kino: mutwale ebigaali okuva mu nsi y'e Misiri, bireete abaana bammwe n'abakazi, muleete ne kitammwe, mudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era balagire batwale amagaali okuva mu nsi y’e Misiri olw’abaana baabwe abato ne bakyala bammwe, mujje ne kitammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era balagire nti, ‘Mukole bwe muti: nga muva mu nsi ey'e Misiri, mugende n'amagaali kwe mulireetera abaana bammwe abato ne bakazi bammwe, mujje ne kitammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era balagire nti: ‘Mukole bwe muti: nga muva mu nsi ey'e Misiri, mugende n'amagaali kwe mulireetera abaana bammwe abato ne bakazi bammwe, mujje ne kitammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaakano olagiddwa, mukole bwe muti: mutwalire abaana bammwe abato ne bakazi bammwe amagaali mu nsi y'e Misiri, muleete kitammwe mujje.