Genesis 45:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe yakaaba n'akuba omulanga, Abamisiri bonna ne bamuwulira, n'amawulire ne gatuuka mu lubiri lwa Faraawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, n’Abamisiri ne bamuwulira era n’ennyumba yonna eya Falaawo nabo ne bamuwulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akaaba n'eddoboozi ddene, Abamisiri ne bawulira, n'ennyumba ya Falaawo n'ewulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akaaba mu ddoboozi ery'omwanguka, Abamisiri n'ab'omu lubiri lwa kabaka, ne bawulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akaaba n'eddoboozi ddene: Abamisiri ne bawulira, n'ennyumba ya Falaawo n'ewulira.