Genesis 45:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temufa ku byammwe, kubanga byonna ebya Misiri ebisinga obulungi biriba byammwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula ebintu byammwe tebibateganya nnyo, kubanga ebisinga obulungi mu Misiri yenna bijja kuba byammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era temweraliikirira kulekayo bintu byammwe, kubanga ebisinga obulungi mu nsi ey'e Misiri yonna biriba byammwe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era temweraliikirira kulekayo bintu byammwe, kubanga ebisinga obulungi mu nsi ey'e Misiri yonna, biriba byammwe.’”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era temulowooza bintu byammwe; kubanga ebirungi eby'omu nsi y'e Misiri byammwe.