Genesis 45:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalagira buli omu aweebwe omuteeko gw'ebyambalo ebiggya. Benyamiini yamuwa ebitundu bya ffeeza ebikumi bisatu n'emiteeko gy'ebyambalo ebiggya bitaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli omu ku bo n’amuwa ebyambalo eby’okukyusa, naye ye Benyamini n’amuwa ebitundu bya ffeeza ebikumi bisatu n’ebyambalo eby’okuwanyisa emigogo etaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna n'abawa buli muntu ebyambalo eby'okukyusizaamu; naye n'awa Benyamini ebitundu eby'effeeza bisatu (300), n'ebyambalo eby'okukyusizaamu engeri ttaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli omu ku bonna, n'amuwa engoye ez'okukyusizaamu, naye Benyamiini n'amuwa ebintu bya ffeeza ebikumi bisatu, n'engoye ez'okukyusizaamu za mirundi etaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna n'abawa buli muntu ebyambalo eby'okukyusizaamu; naye n'awa Benyamini ebitundu eby'effeeza ebikumi bisatu n'ebyambalo eby'okukyusizaamu engeri ttaano.