Genesis 45:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bamubuulira nti: “Yozefu akyali mulamu; y'afuga ensi y'e Misiri yonna.” Yakobo n'azirika; yali takkiriza kye bagamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka ne bamutegeeza nti Yusufu akyali mulamu, era y’afuga ensi y’e Misiri yonna. Bwe yawulira ebyo n’awunga n’atasobola kubakkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamugamba nti, “Yusufu akyali mulamu, era ye mukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri,” n'azirika kubanga teyabakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamubuulira nti: “Yosefu akyali mulamu, era ye afuga ensi yonna ey'e Misiri.” Yakobo n'awuniikirira, n'atabakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Yusufu akyali mulamu, era ye mukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri. Omutima gwe ne guzirika kubanga teyabakkiriza.