Genesis 45:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe baamubuulira byonna Yozefu bye yali abagambye, era bwe yalaba ebigaali bye yaweereza okumukima, olwo omutima gwa kitaabwe Yakobo ne gudda engulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe baamutegeeza ebigambo bya Yusufu byonna bye yabagamba, era bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumutwala n’addamu omwoyo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamubuulira ebigambo byonna Yusufu bye yabagamba; bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumutwaliramu, omwoyo gwa Yakobo kitaabwe ne guddamu amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe baamunyumiza ebyo byonna Yosefu bye yabagamba, era bwe yalaba amagaali Yosefu ge yaweereza okumutwaliramu, n'addamu amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba ebigambo byonna ebya Yusufu, bye yababuulira: kale bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumusitula, omwoyo gwa Yakobo kitaabwe ne guddamu amannyi: