Genesis 45:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'agamba baganda be nti: “Nze Yozefu. Kitange akyaliyo mulamu?” Naye baganda be ne batasobola kumwanukula kubanga baali basobeddwa w'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nze Yusufu, kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batayinza kumuddamu, kubanga okweraliikirira kwabayinga mu maaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'agamba baganda be nti, “Nze Yusufu; kitange akyali mulamu?” Baganda be ne batya nnyo, okulaba nga bayimiridde mu maaso ge, ne batayinza kumuddamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'agamba baganda be nti: “Nze Yosefu. Kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batya nnyo, okulaba nga bayimiridde mu maaso ge, ne batasobola kumuddamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'agamba baganda be nti Nze Yusufu; kitange akyali mulamu? Baganda be ne batayinza kumuddamu; kubanga beeraliikirira mu maaso ge.