Genesis 45:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleke kunakuwala, temunyiiga okulaba nga mwantunda eno. Katonda yabansoosa eno mu Misiri mponye obulamu bwammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano temuggwaamu mwoyo, oba temwekubagiza olw’okuntunda wano, kubanga Katonda yantuma mbasookeyo nsobole okuwonya obulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kaakano temunakuwala, so temwesunguwalira, kubanga mwantunda muno; kubanga Katonda ye yankulembeza okubawonya mmwe mu kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kaakano temunakuwala, wadde okwesunguwalira olw'okuntunda muno, kubanga Katonda ye yansindika okubakulemberamu mmwe, okuwonya obulamu bw'abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano temunakuwala, so temwesunguwalira, kubanga mwantunda muno: kubanga Katonda ye yankulembeza mmwe okuwonya mu kufa.