Genesis 45:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gino emyaka ebiri bukya njala egwa mu nsi; ate wakyaliyo emyaka etaano nga tewali kulima wadde okukungula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga enjala ebadde mu nsi okumala emyaka gino ebiri; era wakyaliyo emirala etaano egitalibaamu kulima wadde okukungula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enjala yaakamala mu nsi emyaka ebiri; ate ekyasigaddeyo etaano, gye batagenda kulimiramu newakubadde okukungula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enjala yaakamala mu nsi emyaka ebiri, ng'ate wakyasigadde emyaka emirala etaano, gye batagenda kulimiramu, wadde okukunguliramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enjala yaakamaze mu nsi emyaka ebiri: era ekyasigaddeyo etaano, gye batagenda kulimiramu newakubadde okukungula.