Genesis 45:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda yabansoosa eno abateerewo ab'okusigalawo mu nsi, awonye obulamu bwammwe mu ngeri ey'ekitalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Katonda yantuma mbasookeyo mbakuumire abalisigalawo ku nsi; ndyoke mbawonyezeewo abantu abangi ennyo mu ngeri ey’ekitalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Katonda ye yankulembeza mmwe okubawonya ne bazzukulu bammwe, muleme okufa mu ngeri ey'ekitalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yansindika okubakulemberamu mmwe, mulyoke mukuumibwe nga muli balamu ku nsi, n'okubawonya mmwe, ne bazzukulu bammwe mu ngeri eyeewuunyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Katonda ye yankulembeza mmwe okubawonyeza abalisigala ku mmwe mu nsi, n'okubalokola muleme okufa mu kuwonya okw'ekitalo.