Genesis 45:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno si mmwe mwansindika eno, wabula Katonda. Anfudde kitaawe wa Faraawo, mukama w'amaka ge gonna, era omufuzi w'ensi yonna ey'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo si mmwe mwansindika wano, wabula Katonda; era anfudde kitaawe wa Falaawo, era mukama w’ennyumba ye era omufuzi w’ensi yonna ey’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda; era ye yanfuula nga kitaawe wa Falaawo, era omwami w'ennyumba ye yonna era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda. Era yanfuula nga kitaawe wa kabaka w'ensi eno, alabirira ebibye byonna, era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda: era yanfuula kitaawe wa Falaawo, era omwami w'ennyumba ye yonna, era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri: