Genesis 45:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwanguweeko mudde eri kitange, mumugambe nti: ‘Mutabani wo Yozefu agambye nti: “Katonda yanfuula mukama wa Misiri yonna. Tolwa, serengeta ojje eno gye ndi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale mwanguwe, mwambuke eri kitange mumugambe nti, ‘Bw’ati mutabani wo Yusufu bw’agamba nti, Katonda anfudde mufuzi wa Misiri yenna; serengeta gye ndi, tolwa;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mwanguwe, muddeyo eri kitange, mumugambe nti, Omwana wo Yusufu bw'ayogera bw'ati nti, Katonda yanfuula omufuzi wa Misiri yonna; Jjangu gye ndi awatali kulwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mwanguwe, muddeeyo eri kitange, mumugambe nti omwana wo Yosefu agamba bw'ati nti: ‘Katonda yanfuula omufuzi wa Misiri yonna. Jjangu gye ndi awatali kulwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwanguwe, mwambuke mugende eri kitange, mumugambe nti Omwana wo Yusufu bw'ayogera bw'ati nti Katonda yanfuula omwami w'e Misiri yonna: oserengete ojje gye ndi, tolwawo: